Exodus 20:4-5

4 aTeweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. 5 bTobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa.
Copyright information for LugEEEE